Filtrer par genre

CCK Luganda

CCK Luganda

Calvary Chapel Kampala

Okusomesebwa Baibuli mu Luganda

23 - Mukama amanyi, afaayo era atubeera _ 1 Bassekabaka 19 [09-20-2026]
0:00 / 0:00
1x
  • 23 - Mukama amanyi, afaayo era atubeera _ 1 Bassekabaka 19 [09-20-2026]

    Mukama amanyi, afaayo era atubeera _ 1 Bassekabaka 19

    Wed, 23 Sep 2026 - 54min
  • 22 - Mukama Ye Katonda _ 1 Bassekabaka 18_1-46 [09-13-2026]

    Ekitundu ky’ebyawandiikibwa kino kitwoleka nti mu mbeera zonna, Katonda asigaza abantu abamusinza mu mazima era nga muno mwe mwali Obadiya. Wakati mu kuttibwa kwa bannabbi ba Mukama mu Isiraeri, Obadiya yateeka obulamu bwe mu katyabaga olw’abaweereza ba Katonda. Teyakoma ku kubakweka kyokka, naye yabaliisanga emigaati n’okubanywesanga amazzi mu biro eby’enjala.


    Ne mu mbeera ng’ab’obuyinza bakutte amakubo amabi okuva ku Katonda, eyinza okubeerayo abali wansi w’ab’obuyinza obwo abakola ebyo Katonda by’ayagala.



    Wed, 16 Sep 2026 - 56min
  • 21 - Bw’oli Mukkiriza, Manya _ 1 Bassekabaka 17_1-24 [09-06-26]

    Katonda ajja kusigala nga ye Katonda eyatutonda, atulinako obuyinza ne bwe tunadduka okuva ku by’atwetaaza. Kino nno kye kigenda okuvaako ebibonerezo eby’olubeereerera eri abamujeemera n’emirembe eri abakola okwagala kwe.



    Tue, 08 Sep 2026 - 50min
  • 20 - Mukama Afuge Emitima Gyaffe _ 1 Bassekabaka 15 ne 16 [08-30-2026]

    Emitima gyaffe ng’abantu gisalawo bingi mu bulungi bw’amawanga gaffe, amaka gaffe, emirimo gyaffe, ekkanisa zaffe, obuweereza bwaffe, enkolagana zaffe n’abantu ba bannaffe.


    Abalina emitima egitatya Katonda bagoberera ebibi ebiri mu mitima gyabwe ate abo abalina emitima egitya Katonda bagoberera ebirungi obuva mu kutya Katonda.


    Kale nno twekebere emitima gyaffe. Twesabirenga, twenenye, tusabirenga emitima gya bannaffe okukyusibwa okugondera Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna.



    Tue, 01 Sep 2026 - 52min
  • 19 - Bw’omamaya Nti Katonda Alaba… _ 1 Bassekabaka 14_1-31 [08-23-2026]

    Bwe tutegeera nti ye Katonda alaba era tunaddangamu n’okukola ebyo ebigwanira okulabwa amaaso ge agalaba buli wamu era agalaba buli kimu.


    Tuwenga Mukama ekitiibwa ekija mw’ekyo kyali era kye tumutegedde okubeera; tetulina kumutegeerako bye tumutegeerako naye nga tebirina kye bikyusa ku bulamu bwaffe. Kino tukirabira ku Yerobowaamu nti yategeera nti Katonda ayinza okubuulira ebifa ku mwana we ali mu Isiraeri okuyita mu nnabbi Akiya ali mu Yuda, wabula ate n’alowooza nti ayinza obutalaba nti muka Yerobowaamu y’azze awali nnabbi okwebuuza ku bikwata ku mwana.



    Wed, 26 Aug 2026 - 50min
Afficher plus d'épisodes